Omujulizi Andrew Kaggwa: Abakristu balamaze ku kyalo gy’azaalwa
Kitegeerekese ng'olukiiko lwa baminisita bwe lwakkirizza wassibwewo esimbi mu mbalirira y'eggwanga nga za kuddaabiriza ebifo byonna ebyekuusa ku bajulizi okwetoloola eggwanga, mu kaweefube w'okubifuula eby'obulambuzi . Ssaabaminisita yakakasizza enteekateeka eno bwabadde yeegasse ku bakkiriza abalala mu kitundu kye Bunyoro okulamaga ku kiggwa kya Kooki Haibaale, omujulizi Andrew Kaagwa weyazaalibwa . Ekifo kino kisangibwa mu disitulikiti ye Kakumiro.