OKUTEGEKA NAMUGONGO:Abakristaayo bagasse obulabirizi mukaaga
Obulabirizi mukaaga mu bbendobendo ly’obukiikakkono bwa Uganda oba Northern Uganda cluster bwe butegeka emikolo gy'okujjukira olunaku lw’abajulizi ku ludda Lwabakrisitaayo omwaka guno. Kuno kuliko obulabirizi bwa Northern Uganda, obw’e Lango, obulabirizi bwa West Lango, obw’e Kitgum, obw’e Nebbi, n’obulabirizi bwa Madi-West Nile mu Arua. Tukutuusaako emboozi y’engeri obulabirizi buno gye bwaggya bukulamu okuva ku bulabirizi bwa Upper Nile okutuuka ku bulabirizi omukaaga.